Omulabiri w'obulabirizi bw'e Namirembe Rt. Rev. Moses Banja asabye gav’t okulwanyisa enguzi
Omulabiri w'obulabirizi bw'e Namirembe Rt. Rev. Moses Banja asabye gav’t okukola ekisoboka okulwanyisa enguzi gy'agamba ezing’amizza entambuza y'emirimu mu ggwanga. Banja era yenyamidde olw'abantu abeefunyiridde okusanyawo obutonde bw'ensi ekiviirko amataba n'okuyigulukuka kw'ettaka ensangi zino. Ono abadde akulembeddemu abagoberezi ba Kristo ku lutikko e Namirembe mu kusaba kwa Ssekukkulu.