Minisita Sam Mayanja ayagala RDC w’e Hoima akyusibwe kko ne DPC lwa kwenyigira mu mivuyo gy’ettaka
Minisita omubeezi ow’eby’ettaka Sam Mayanja ayagala RDC w’e Hoima akyusibwe kko ne DPC nga abalanga kwenyigira mu mivuyo gy’ettaka nebakkiriza okusengula kw’abantu abasoba mu 500 e Kyabasengya mu ggombolola y’e Kitoba. Olunaku lw’eggulo ono yabadde mu disitulikiti eno ku nsonga z’abantu abazze basengulwa ku ttaka n’abaako n’ebyappa byalagira bisazibwemu.