Ebya P. 7 bitandise; ab’amasomero g’abaliko obulemu beekubidde enduulu
Abaddukanya amasomero g'abakiggala baagala gavumenti ekyuse ebisomesebwa abayizi bano kwossa n'ebigezo bye baweebwa nga bweguli ku bamuzibe, okubasobozesa okuyita obulungi. Bano,bagamba nti ekyabayizi bano okuweebwa ebibuuzo ng'ebiweebwa abaana ababulijjo kiviraako bangi okugwa kubanga olulimi olukozesebwa tebalutegeera bulungi nga bbo bamanyi lwa bubonero .Olwaleero abayizi b'ekyomusanvu okwetoloola eggwanga lwe batandise ebigezo ebyakamalirizo nga bawandiise eky'okubala ne SST.