Palamenti eyisizza ebbago ly’okuggyawo UCDA
Palamenti erudde ddaaki n'eyisa ebbago lyetteeka lyemmwanyi eribaddeko okusika omuguwa okwamaanyi wakati w'aboludda oluvuganya gavumenti n'ekibiina ekiri mu buyinza ki NRM.Mu kiseera ebbogo weriysiddwa ab'oludda oluvuganya babadde balubatu oluvannyuma lw'akavuyo akaabaddewo kumakya. Palamenti era eyisizza amabago amalala abiri og'okuggyawo ebitongole bibiri okuli eky'ebyenguudo ki UNRA ne Uganda Road Fund.