Ab’essomero eririna abaliko obulemu basoomoozebwa okukola ebigezo bya P.7
Abayizi omutwalo gumu mu kakaaga mu kyenda (16,090) bebewandiisa okutuula ebigezo by’eky’omusanvu omwaka guno mu district y’e Luwero ebitandise olwaleero. Omusassi waffe oludda olwo Herbert Kamoga amakanda agasimbye ku somero lya Luwero Boys okwetegereza abayizi abalina obulemu obw’enjawulo. Ku ssomero lino abayizi abali mu kkowe lino abatudde ebigezo olwaleero bali bana.