Ababundabunda mu Kampala; waliwo abazuula ebitone mu banaabwe
Waliwo omunoonyi w'obubudamu okuva mu ggwanga lya Congo atandise okukyusa obulamu bwabanoonyi b'obubudamu abalala abawangaalira mu kibuga Kampala ngayita mu kubatendeka amazina n'emirimu emirala eby’emikono . Ngakozesa ekibiina kye ki Peace Group Entertainment, Jean Jacque Mugisha asobodde okweyimirizaayo ko n'okuyunga banne ku mirimu egy’enjawulo.Ekibiina kino era kirimu n'okubudaabuda abanoonyi b'obubudamu okusobola okubeerabiza embeera mwe baayita .