Omusumba Sylvester Rwakaikara obulwadde bwa pulesure bwamulesa emirimu
Buli muntu mu ggwanga lino Uganda alina eddembe okufuna obujjanjabi obwetagisa era nga buno buvunaanyizibwa bwa government okusembereza bannansi obuwereza buno. Wabula kino oyinza okugamba nti kikyali kyakusoomoza eri abantu abalina endwadde ezisiigibwa nga bangi obujjanjjabi bubali wala ate nga bwa buseere. Omusumba wa Kelezia y'aba Othodox Dr. Sylveter Rwakaikara Adyeeri nga mutuuze mu district y'e Mubende y'omu ku bantu abayita mu mbeera y'obugubi okufuna obujjanjabi nga aludde ku ndiridde n'endwadde ya pressure eyamuviirako okusannyalala.Ogenda kuwulira ono bw'eyetunzeeko buli kya bugagga okutaasa obulamu wabula nga tewali kikyuukawo