Wuuno akola amanda mu kasasiro okutaasa obutonde bw’ensi
Mu mwaka 2018 Simon Tugumisirize yawangula omudaali gw'ekitongole ky'amawanga amagatte ki UN olw'okwongera omutindo ku bikuta by'amatooke, nga omu ku kaweefube w'okukuuma obutonde bwensi.Ono mu kiseera kino addukanya ekkolero erifulumya ebintu eby'enjawulo omuli nokukola amanda mu kasasiro .Ekkolero lino likyusizza nnyo obulamu bw'abavubuka n'abakyala okuyita mu kubawa emiri n'obukodyo obw’enjawulo.