Okulongoosa emmere efisseewo; waliwo abayizi abagikolamu ey’ebisolo
Waliwo empaka ezeetabwamu ebitongole n’amasomero okuva mu nsi yonna nga ziba z’abo abayiiyizza ebintu ebipya ebiyambako okungonjoola ebizibu ebisoomooza. Essomero lya St. Kizito High School Namugongo lyasobodde okutuuka ku mpaka z’akamalirizo eza 2025 ezaateekebwawo president wa United Arab Emirates Sheikh Mohamed bin Zayed. Omukolo gw’okulangirira abaasinze gwetabiddwako ne President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni n’abakulembeze b’amawanga abalala abaaweze 11. Essomero lyayolesezza puloojekiti y’okuddira emmere efisseewo gye bakungaanya ne bagirongoosa basobole okukolamu emmere y’ebisolo erimu ekiriisa.