Omugga Maziba e Kabale; gavumenti etandise okukuuma entobazzi ezigwetolodde
Entobazi eziriranye Omugga Maziba za mugaso nyo kubanga ziwa abantu b’e Kabale, Ntungamo ne Rukiga amazi agakozesebwa mu by’obulimi n’awaka. kyoka entobazi zino zaali zisanyiziddwawo olw’abantu okwesenza mu okulima n’okulunda ente. Wabula, gavumenti ng’eyita mu kusomesa abantu esobodde okuza obugya entobazi nga Ikona, Rufuha, ne Kabasheshe era nga y’emu ku puloojekiti ezikoleddwa obulungi ezitwalibwa nga eky’okulabirako mu ggwanga. Tukuletedde emboozi eno.