Obubbi bw’emmotoka mu Kampala; abazisuubula bagamba poliisi tebayambye
Abasubuuzi b’e Mmotoka mu Ndeeba balaajanidde poliisi okubayambako okulwanyisa obubbi bwe Motooka bwe bagamba nti bweyongera buli lukya. Bagamba nti buli lunaku bannabwe batwalibwako emmotoka zaabwe mu bunyazi nga buno, kyoka nga Poliisi mpaawo kyekola okubataasa. Poliisi ebasabye okwettanira okuwaba emisango nga gyino mu bwangu , banguyirwe okulondoola abanyazi nga bano.