Abadde atundira ffene ku luguudo okufuna fiizi ayambiddwa
Waliwo omuyizi ali mu senoir ey’okuna atunda ffene nga mwagya ensimbi ezimuwerera. Amon Kabugo asomera ku Kiwoko SS mu district y’e Nakaseke, kyokka ono essuubi ly’okutuula ebigezo libadde limuweddemu olw’okubulwa ebisale by’esomero mu mbeera eno eya kanaayokya ani. Wabula Sofia Namutebi abasiinga gwe bamanyi nga Maama Fiina amudduukiridde namusasulira ebisale by’essomero okumalako era neyeyama n’okumuwerera okutuusa lw'alimalako University