Lwakataka aleebezza banne mu mpaka z'emmotoka e Masaka
Ponsiano Lwakataka awangudde laawundi ey'okubiri ey'empaka z'emmotoka eza National rally championships ezikomekkerezeddwa akawungeezi ka leero e Masaka. Ono era ye yawangula empaka za laawundi eyasooka ezaali e Mbarara . Baddereeva 35 be bavuganyizza mu luvuga olwaleero olubadde e Sembabule.