Nazzikuno: Ebikwata ku nswa ennaka n’entunda
Enswa kiwuka ekikulira muttaka ebiseera byakyo ebisinga obungi kyoka lwekivudeyo nekibuuka nga sizoni yakyo etuuse ate abasinga obungi bakwaata kikwate gwe wama abamu basooka ku kisiika ate abalala bakirya kibisi. Mu mwaaka omulamba tubeeramu ne sizoni ye biwuka bino ya mirundi ebiri, nga esooka ebeerawo mu gwa kuna eyitibwa Kafuumuulampawu oba entunda nga eno ye yaviirako n’omwezi ogw’okuna okugutuuma Kafuumuulampawu songa endala zo zibuuka mu mwezi ogwa Mukulukusabitungotungo.Olwaleero tukuletedde enswa ezibuuka mumwezi ogwokuna nga obudde buwungeera oba enkuba nga yakamala okutonya akasana ne kaaka.