Ekirwadde ky’enjovu kyongedde okusensera abantu e Kapelebyongo
Abakulira eby’obulamu mu district y’e Kapelebyong bali mu bweraliikirivu olw’obulwadde bw’enjovu obweyongera okusensera mu batuuze. Ebitundu bitaano ku buli kikumi eby’abantu ababeera mu district eno balina ekirwadde ky’enjovu. Embeera eno ekaluubirizza okwekulaakulanya kw’abatuuze olw’okumalira ensimbi n’obudde mu kwejjanjaba ate n’ekirwadde okulemesa abandibadde bakola emirimu gy’okwekulaakulanya. PATRICK SSENYONDO y’abaddeko mu district y’e KAPELEBYONG era y’alina vebisingawo.