Abakaba ba NRM batenda obulungi obuli mu nnongoosereza mu tteeka ly'amagye
Abamu ku babaka ba palamenti abawagidde okuyisa etteeka eriruungamya emirimu gy'amagye ga UPDF balitenze obulungi nga bagamba nti ligenda kulungamya bulungi ebyokwerinda saako n’abantu abakozesa obubi emundu.Kyoka kyebagala okulaba nga abagenda okuteeka eteeka lino munkola naddala akawayiro k'okuzaayo abantu babulijjo mu kkooti z’amagye okuba nga babeera benkanya okumalawo okutya okusangibwa mu kkooti eno.Twogedde n’ababaka bano olwaleero.