Abalamazi okuva mu bitundu by’eggwanga eby'enjawulo bongedde okufunza ku lugenda lw’e Namugongo
Ebibinja by’abalamazi okuva mu bitundu by’eggwanga eby'enjawulo byongedde okufunza ku lugenda lw’e Namugongo so nga waliwo n’ebirala ebituuse ku biggwa olwaleero. Ekibinja ky’abalamazi abava e Lira ky'ekimu ku bituuse e Namugongo olwaleero wakati mu ssanyu oluvannyuma lw’ebbanga lya wiiki bbiri nga bali mu lugendo.