TTABAMIRUKA WA DP: Eby’okusunsula abakiise tebinnaggwa, tebannatuula
Newebungereede olwaleero nga tabamiruka wa Democratic Party eyatudde mu kibuga Mbarara tanatandika, olw’okulwawo okunsula abakungu 1,400 abalina okumwetabamu. Tukitegedde nti omulimu guno gwatandise lunaku lwaggulo, nga kisuubirwa nti okulonda kujja kuba kwa leero- kyoka kino tekisobose. Abamu ku bakungu betwogeddeko nabo naddala abavudde wala, beekokkodde akasoobo akali mu kubasunsula, nga bagamba nti kano kandiba akakodyo ak’okubeetamye beesonyiwe eby’okwetaba mu tabamiruka ono.