EMPAKA Z’EBIKA: Enseenene, Endiga, Engabi N’ekkobe zaakuttunka
Bazzukulu ba Lwomwa ab’endira endiga ne Bazzukulu ba Nsamba ebeddira engabi ensaba be bayiseewo okuttunka ku nzannya zaakamalirizo mu mpaka z’omupiira gw’ebika bya Baganda. Engabi ensamba ekubye Ekkobe ggoolo 4-2 mu kusimulagana ppenati oluvannyuma lwomupiira okuggwa nga tewali alengedde katimba ka munne mu mupiira gwa semi fayinolo ogusooseewo e Wankulukuku.
Mu ngeri y’emu nendiga egyemu Ensenene mu 4-2 mu kusimulagana ppenati oluvannyuma lwa maliri ga ggoolo emu.