Nazzikuno :Tuzzizzaayo olutambi mu kiseera abajulizi mwe battirwa
Wakati w’omwaka gwa 1885 ne 1887 gy’emyaka 138 egyakayita bukyanga Ssekabaka Mwanga Bassamula Ekere ayisa kiragiro eky’okujjawo omuntu yenna eyali akalambira n'alemera ku ddiini eyaletebwa ba magulu meeru kuno. Abantu abalemera ku kye baali baagala battibwanga mu ngeri ez'enjawulo, omwaali okubatemako ebitundu eby'enjawulo ku mubiri ne babalekebwa nga balaajana, okubakuba endoddoli z’emiggo ku nsikya nga naabasembayo baapangibwa ku nsekese z’enku n’ebateekerwa ogufumba. Mu lugendo luno lwonna waliwo ebintu eby’ennono ebyagobererwa nga era nga by'ebimu ku bye tukuleetedde mu nazzikuno w’olwaleero.