EMPAKA Z’EBIKA: Enseenene, endiga, engabi n’ekkobe zaakuttunka
Bazzukulu ba Kalibbala abeddira Ensenene baakuttunka ne Bazzukulu ba Lwomwa abeddira endiga olunaku lwenkya mu luzannya lw’omupiira gw’ebika bya Buganda oluddirira olwakamalirizo ku kisaawe Kya Mutesa 11 e Wankulukuku. Mu luzannya olulala oluddirira olwakamalirizo Engabi ensamba yakuttunka ne Kkobe. Abawanguzi okuva mu nzannya zombi be bagenda okuttunka ku fayinolo ku Lwomukaaga lwa wiiki ejja.