Abalwanirira eddembe ly’obuntu beekengedde ennongoosereza mu bbago ly’eteeka ly’amagye
Bannakyewa abataatira eddembe ly’obuntu bagamba nti ekya palamenti okuyisa ennongosereza mu teeka ly’amaggye kigenda kwongera kunyigiriza ddembe lya buntu , so ssi kubayamba kufuna bwenkanya nga abaaliyisiza bwebagamba. Bano bagamba nti ennongosereza zino za kugasa gavumenti sossi muntu wa bulijjo.Kati bano baagala omukulembeze we ggwanga agaanire ddala okuliteeko omukono.