Abatannalaba bantu baabe abaabuutikirwa kasasiro e Kiteezi essuubi libaweddemu
Abatannalaba bantu baabwe abaabuutikirwa Kasasiro mu njega eyagwa e Kiteezi omwezi gumu emabega baweddemu essuubi oluvannyuma lw’okulaba nga okunoonya abantu baabwe kwaviibwako nga kati gavumenti yeesibye ku kya kusima myala.Mu kiseera kino, gavumenti ne KCCA batandise enteekateeka y’okwekennenya abantu abali mu kibangirizi ekya metre 200 ezirina okulekebwa okuva kasasiro w’akoma nga teziriimu bantu n’enteekateeka y’okulaba nga enkambi gye baateerawo abantu eggalwa abaliyo bafunirwe we basobola okutwaliza obulamu mu maaso.