Bannakibiina ki FDC ab’ekiwayi ky’e Katonga kiwade eby’okulonda nsalesale okubawa empapula
Bannakibiina ki FDC ab’ekiwayi ky’e Katonga kiwade akakiiko k’eby’okulonda nsalesale wa sabiiti emu okuba nga kabawadde empapula z’okuwandiisa ekibiina ekiggya ki People’s front for freedom [PFF].
Akulira ekiwayi kino Erias Lukwago ategeezeza nga akakiiko k’eby’okulonda kakikola kigenderere okubalemesa okwewandiisa nga ekibiina.
Kko akakiiko k’eby’okulonda kategeezeza nga byona byekakola bwebikolebwa mu mateeka.