Ekitongole ekirera obutonde bwensi ki NEMA kitandise okwerura empenda z’olutobazzi lwa Lubigi
Ekitongole ekirera obutonde bwensi ki NEMA kitandise okwerura empenda z’olutobazzi lwa Lubigi okutangira abantu okuddamu okulwesenzaako.
Tukitegedde nti kino kyakubuna eggwanga lyonna okukomya omuze gw’abantu okuneneng’ana ne NEMA nga ebagoba mu ntobazzi.
Mungeri y’emu NEMA esabye abalina ebyapa okuli entobazzi okugenda gyeri ebalambike ku ngeri gyebagenda okuzeyabisa etamenya mateeka.