Poliisi y’ebiduka etubuulidde nti abaana abafiira mu bubenje beeyongedde
Poliisi y’ebiduka etubuulidde nti abaana 239 bebakafiira mu bubenje bw’okunguudo wakati w’omwezi ogwa January n’omwezi ogw’omukaaga, nga bangi ku bano baali baana ba masomero.
Poliisi egamba nti abaana abakafiira mu bubenje buno bali wakati we myaka etaano ku kumi n’omunaana.
kati balabudde abazadde abazza abaana ku masomero okubeera abegendereza ku banga bangi ku baafa baali badda oba nga bava ku masomero.