Abatuuze e Butambala basigadde bafumbye miyagi lwa nkuba
Namuttikwa we nkuba eyabaddemu kibuyaga n’omuzira eyafuddebye mu bitundu bye Butamba mu gombolola ye Kalamba yalese abatuuze ku byaalo okuli Butesasira,Kamugombwa, Bugerenge ne suula mu ggombolola ye Kalamba nga beeyaguza lujjo. Abatuuze batubuulidde nti tebasigaza wa kwegeka luba , songa ne mmere yaabwe yayonoonese.Kati baagala abakwatibwa ensonga naddala wofiisi ya ssabaminisita eyanguwe okubaduukirira.