Omuzannyo gw’ensero: Ebula Mbale liigi y’eggwanga etandike
Kati wasigadde wiiki biri zokka, liigi y’eggwanga ey’omuzannyo gwe nsero, National Basketball League egyibweko akawuuwo ku Indoor Arena e Lugogo.Musaayi muto Shiilla Lamunu omu ku baabadde ne ttiimu y’eggwanga eya Gazelles agamba nti w’akukozesa obukugu bweyafunye mu mpaka za Zone V ayambe kkiraabu ye eya UCU Lady Canono okuwangula ekikopo kya sizoni eno.