Bizinesi ya sukaali mu ggwanga, Minisita Anite aliko by’awabudde bamusigansimbi
Minisita omubeezi ow’eby’ensimbi avunanyizibwa ku bamusiga nsimbi Evelyn Anite agamba okuggala minzaani ezikozesebwa ab’ebikajjo gy’ebuvuddeko kigenda kuyamba nnyo abalimi okulaba nga tebaddamu kubbibwa, era nga bafuna ekyo ekibagwanidde. Minzaani ezo zaali zagalwa oluvanyuma lw’ebigambibwa nti zaali zikozesebwa okunyaga abalimi, n’okubabako ebikajjo byabwe. Anite abadde Ndibuluungi mu district y’e Luwero ng’alambula emirimu egikolebwa aba kampuni ya sukaali aya Victoria Sugar Limited.