Obunkenke e Bundibugyo, waliwo enjatika mu ttaka ezizuuliddwa
Abatuuze mu disitulikiti y’e Bundibugyo naddala mu gombolola okuli Kirumya, Bubukwanga, Ndugutu ne town Council mu gombolola ye Bundimulombi bali mu kutya olw’enjatika okulabika mu ttaka mu kitundu kino. Ekitundu kino kizze kiggwamu okubumbulukuka kw’ettaka naddala mu kaseera k’enkuba enyingi. Kati bano baagala gavumenti ebaweereze abakugu mu by’ettaka, babaabule nga bukyali bwekiba kisoboka beetegule.