NAZZIKUNO: Biibino by’obadde tomanyi mukuyigga mu Buganda
Nazzikuno omukyaala yavunanyizibwa nga kugwakutegeka mere awaka olwo omwaami nakola ku by'enva baleme kulya mere nnuma. Naye ebbula ly'enva awaka lyatagazanga banji naddala abaami kubanga kino kyabawaliriza nga n'okuyingira ettale bazifune nga n'oluusi balina kukolera mu kibinja ekyatuumibwa ABAYIZZI. Ensi bwe yajja ekyuka eyo mu mirembe egyasooka, omulimu guno gw'atuuka negufuna n'amateeka okuggyawo obutali bwenkanya na ddala mu ngaba y'ensnolo eyabanga eyigiddwa. Mu mboozi yaffe esookedde ddala mu kanyomero kaffe aka NAZZIKUNO, tugenda kulaba engeri Okuyigga gye kwakolebwangamu na biki ebigobererwa nga abayizzi banaakwasa.