Agasirwe ne Minaana bazziddwayo ku alimanda, balinze kusindikibwa mu kkooti enkulu
Omusawo w’amakomera akakasiza kooti esookerwako e Nakawa nga omusajja Abdunoor Ssemujju amanyiddwa nga Minaana bwatatulugunyizibwako nga bwazze alumiriza ebitongole by’ebyokwerinda. Ono olunaku lweyasooka okulabikako mu kooti eno yalumiriza nga bweyali akubiddwa ennyo, era nga yali amaze ebbanga nga talya mmere. Kati alipooti eraze nti ono yali mu katemba nga ayagala akwatirwe ekisa, era on kati alindiridde kunoonyereza kwa ludda luwaabi ye ne munne Nixon Agasirwe basindikibwe mu kkooti enkulu.