Kkooti egaanye okusaba kwa Ssejjemba ne banne okweyimirirwa
Ssentebe wa district y’e Mpigi Martin Ssejjemba ne banne abalala babiri bwebavunaanibwa mu musongo gw’okufuna ekyojamumiro ku bantu abaali baagala emirimu gya disitulikiti eno bazziddwayo ku alimanda mu kkomera e Kigo okutuusa nga 15 omwezi ogujja.Olwaleero bakomezeddwawo mu kkooti okuwulira okusaba kwabwe okwokweyimirirwa wabula kkooti ekugaanye .Okusaba kwabano, omulamuzi Joan Ketty Acaa yakugobye.