Gav’t egamba bbeeyi y’emmwanyi evudde ku mbeera y’akatale k’ensi yonna
Gavumenti egamba nti ebbeeyi y’emwaanyi esalibwawo abaguzi b’ensi yonna era terina mukono gwonna mu kusalawo ku bbeeyi y’emwaanyi, wabula balabula nti tebasobola kuteekawo bbeeyi ey’esalira kubanga kikosa ebyenfuna. Kati essira balitadde ku kunoonya butale bwa mwaanyi obulala nga bava kw’obwo obuliwo gye bavuganya n’ensi endala enimi z’emwaanyi,
Kati bano batnuulidde kugenda China n’ebitundu ebirala ebya Asia aboongedde amaanyi mu kukozesa emwaanyi. NTV yatudde n’omuteesiteesi omukulu owa minisitule y’ebyobulimi, Maj. Gen. David Kasura, okuwaya ku mbeera eri mu nsonga z’emwaanyi.