Lulume Bayiga atangaazizza ku byamuleetedde okudda mu PFF
Omubaka wa Buyikwe South Dr. Michael Lulume Bayigga agamba nti yeegasse ku kibiina ki people’s Front for freedom kubanga alaba nga kyekisinga kubirala ebiriwo naddala bwekituuka ku kulwanirira enfuga egoberera amateeka Lulume, asambazze ebyogerwa nti okwegatta ku PFF anoonya kibiina kinaamuwa kaado oluvannyuma lw'okufunna obutakkaanya ne bannakibiina ki Democratic Party gye yavudde Omusasi waffe Baker Mulinde awayizaamu ne Lulume.