EBY’OBUGAGGA BYA ASWANI:Nnamwandu alumiriza mikwano gy’omugenzi okubiremera
Waliwo omukyala alumiriza ab’enganda wamu n’egimu ku mikwano gya bba kaakano omugenzi okulemera eby’obugagga omwami we omuyindi Aswani byeyaleka. Omukyala Aisha Ibolo alumiriza nti bba yafa emyaka enna emabega naaleka eby'obugagga, kyoka okuva olwo ab’oluganda lwa bba bamusenza kati. Ono agama nti wadde nga kkooti yamuwa ebiwandiiko ebimukkirirzza okudukanya eby’obugagga by’omugenzi , akyalemereddwa okufuna ekintu kyonna okuva ku bintu bba byeyaleka.