Akakiiko k'ebyokulonda kagamba abantu obutajjumbira kulonda kikafiiriza ensimbi
Akakiiko ke k’ebyokulonda kalaze obwennyamivu olwa bannayuganda abatayagalira ddala kulonda,kyoka nga gavumenti eteekamu buwanana okutekakateeka okulonda kuno. Ssentebe w’a Kakiiko kano Simon Byabakama agamba bannayuganda abafaayo okugenda okulonda buli kadde bakendeera, kyokka nga bakimanyidde ddala nti buvunanyizibwa bwabwe.Bino babibuulidde abakulu ku kakiiko akalera obwenkanya ka Equal Opportunities Commission, bwebabade babasisinkanye okukkaanya ku bitera okubuusibwa amaaso nga bateekateeka okulonda naddala mu kaseera kano nga okulonda kwa 2026 kukubye koodi.