Akakiiko k'ebyokulonda mu NRM kalabudde bannakibiina abagenda okusunsulwa okugoberera ebiragiro
Akakiiko k'ebyokulonda mu NRM kalabudde bannakibiina abagenda okusunsulwa okutandika ku lw'okubiri lwa ssabiiti eno, okugoberera ebiragiro ebyayisiddwa. Okusinziira ku ssentebe w'akakiiko kano Tanga Odoi, agenda okusunsulwa alina okujja n'abantu babiri bokka ng'abanasukkawo ssibakukkirizibwa munda mu kibiina Odoi era agamba nti ebyokusunsula byakutambulira ku nkola yasoose okutuuka yakolwako si songa ali ku ddaali ki Olwaleero waliwo abantu 17 abaweereddwa omukisa okuggyayo empapula yadde ng'enteekateeka yakomekkerezeddwa lunaku lwa ggulo