Akakiiko ka COSASE kakunyizza ab’ekisaawe ky’e Ntebe
Abakulu okuva mu kitongole ekivunaanyizibwa ku ntambula y'ennyonyi mu ggwanga ki Uganda Civil Aviation Authority bagamba nti okutandika okukozesa ekizimbe ekipya ku kissaawe ky’ennyonyi entebbe kyekimu ku byaviirako okubooga kw’ekissaawe gyevuddeko.Bano babadde balabiseko mu kakiiko akalondoola emirimu gy’ebitongole bya gavumenti aka COSASE, ku byalabikira mu alipoota ya Ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti, nga alumiriza abakulu bano okusasula abakozi abamu omusaala nga ate balabika tebaliiyo oba ba mpewo.