Akamyufu ka FDC kabaddemu emivuyo waliwo abawanduse
Jackson Magombe yakwasiddwa bendera ya FDC ku kifo ky'omubaka wa Budadiri West mu kalulu ka 2026 oluvannyuma lw'abane bwe babadde bavuganya okuwanduka mu lwokaano nga beemulugunya ku nsonga ezenjawulo omuli ne kyekubiira. Akalulu ono mwe yalondeddwa k'abadde kakusimba mu mugongo era nga kaayindidde ku ssomero lya Mafudu Primary School e Sironko. Abalala abalondeddwa ekibiina okubakwatira bendera kuliko Fiona Nafuna agenda okwesimba ku kifo ky'omubaka omukyala owa disitulikiti ye Sironko ne Francis Chegulo ku kya Ssentebe wa disitulikiti eno .