NAZZIKUNO:Manya ebikwata ku kivuga ky’ekkondeere
Emikondeere kivuga ekya nnono wano mu Buganda era nga kifuuyibwa kumukolo Ssaabassajja gwabeera asiimye okubeerako gwokka. Ssi buli kika mu Buganda nti kivunanyizibwa okufuuyira Kabaka emikondeere gyino okugyako ekye Nyonyi Nakinsige ekyagabana omulimo guno mu lubiri. Kale no mu Nazzikuno waffe ow'olwaleero tukuletedde ebikwata ku mikondeere gyino omanye ne bwegikolebwa kubanga bangi balowooza nti gaba mayembe ga nte.