Gwe baatemako emikono ayagala kufuna mikolerere
Esther Mbambu omutuuze w'e Kasese eyakomayo oluvannyuma lwa bba okumutemako emikono gy'ombi mu gwokusatu omwaka guno agamba nti yeetaaga obujjanjabi obwekigugu okusobola okuwono obulungi . Ono agamba alumizibwa omutwe entakera ekimumazeeko emirembe. Bazadde ba Mbambu nabo baagala abazirakisa ababayambako omwana waabwe afune emikono emikolerere asobole okwelabirira.