Nabbanja akunze ab’e Kakumiro obutalonda bamuvuganya
Ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja asabye abalonzi e Kakumiro okulonda nga tebesigamye ku mawanga. Nabbanja olwalero asiibye atalaaga ebyaalo nga afefeta akalulu akanamuzza mu palamenti okukiikirira abakyala mu disitulikiti ye Kakumiro. Ssaabaminisita Nabbanja asokedde ku kyalo Nazareth mu Ggombolola ye Kasambya eno bamwaniriza nga muzira.