Omusumba Severus Jjumba ajaguzza emyaka 6 mu bwepisikoopi
Omusumba w'essaza lye Masaka Severus Jumba asabye abakkiriza okumukwasizaako okusobola okutuukiriza obuweereza bwe obulungi. Jjumba abyogeredde mu misa eyenjawulo eyindidde ku kiggwa ky'omujulizi Kalooli Lwanga ebadde eyokujaguza emyaka omukaaga mu gyamaze mu bwepisikoopi. Missa eno yetabiddwako ne ssaabasumba w'essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere.