Akamyufu ka NRM, e Lwengo kakuyege atandikidde mu ggiya
Bannakibiina ki N.R.M abegwanyiza ebifo by’obukulembeze mu disitulikiti y’e Lwengo batandise okutalaaga nga bakunga abalonzi okubalabira dala nadala mu biseera by’akamyuka kko n’okulonda kwabona okubindabinda.Mungeri y’emu akulira Office ya Ssentebe wa N.R.M Hadijah Namyalo akunze abantu obutawubisibwa bannakigwanyizi n’ekigendererwa eky’okubalemesa okwetaba mu kulonda.