Amasomo agaadibizibwa e Makerere, abaagasoma bali mu bwerariikirivu
Waliwo Abayizi abazzeemu okukaluubirirwa okufuna ebifo mu matendekero g'awaggulu ebweru w'eggwenga gye baagala okwongerera ku misomo gyabwe Kino kivudde kukuba nti amasomo ge baatwala mu matendekero g'awano agaawaggulu gaali tegaddizibwanga bujja oba okukakasibwa akakiiko k'ebyenjigiriza ebyawaggulu mu kiseera we bagasomeraBuli ssomo erya diguli oba dipulooma lirina okuddamu okwetegerezebwa era n'erikakasibwa akakiiko kano buli luvannyuma lw'emyaka etaano nga essomo eriba litannakakasibwa akakiiko kalitwala ng'eritaliiwo oba eryadibizibwa.