AMAZZI GASSE ABAANA: Gaabakuluggusizza mu nkuba eyafudembye eggulo e Masaka
E Masaka Waliwo abaana babiri abaafudde oluvannyuma lw'okutwalibwa amazzi g'enkuba eyabadde efudemba akawungeezi k'eggulo. Bino byabadde kumpi n'olusaalu oluyitibwa Ndyabusole ku luguudo oluva mu e Nyendo okudda ku mwalo gwe Lambu e Bukakata. Kigambibwa nti abaana bano baabadde batambulira ku boda boda ne bazadde baabwe nga bava ku mukolo e Bukakata amazzi ne gakuba boda bodda negwa olwo negakuluggusa abaana.