Anderson Burora asindikiddwa ku alimanda e Luzira
Eyali omumyuka wa RCC wa Lubaga Division Anderson Burora akitegedde nti waakugira nga abeera ku alimanda mu kkomera e Luzira ku misango egyekuusa ku kusiga obukyayi. Ono asimbiddwa mu kkooti olwaleero era nga wakudda nga mwenda omwezi guno Burora yakwatibwa ku baraza ya sabiiti eno nasula mu kaddukulu ka Poliisi e Kira gyeyajjiddwa natwalibwa ku CPS mu Kampala gyeyasuziddwa olunaku lw’eggulo .