Anthony Zziwa: Tuddeyo ku musingi tusobole okutaasa amaka
Akulira Abepisikoopi mu Uganda era Omusumba w'essaza lya Mityana Anthony Zziwa alaze obwennyamivu olw'abazadde ab'esuuliddeyo ogwa nnagamba ku nkuza y'abaana, nga kino kiviiriddeko okutyoboola eddembe ly'abaana wamu n'okusanyaawo empagi y'amaka. Ono era asabye gavumenti okuvaayo kw'ebyo ebisoomoza ba BannaUganda. Bibadde mu bubaka bw'Ekeleziya katulika obw'amazaalibwa.