Waliwo abalwadde ba kkookolo abaagala gavumenti ebazimbire
Okusoomoza okusinga abalwadde ba kkookolo kwe basanga nga bazze mu ddwaliro e Mulago okufuna obujjanjabi kwa byansula na ddala abo abava mu bitundu ebyesudde amasekatti. Kati kino kiviiriddeko abalumirirwa abantu bano okussa gavumenti ku nninga, ezimbewo ekifo ekiyinza okukola ng'ekisulo ky'abalwadde bano okusinga okwetuuma mu weema ezaatekebwawo eddwaliro nga balinda obujjanjabi. Uganda Cancer Institute ekifo ky'eddukanya mw'esuza abalwadde kifunda nnyo bw'ogerageeranya ku bungi bw'abantu abagendawo.